FIFA eggye envumbo ku mupiira gw’e Kenya.

0

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira mu nsi yonna ekya Federation of International Football Association (FIFA) kiggye envubo ku kibiina ekiddukanya omupiira e Kenya ekya Federation of Kenyan Football (FKF).

Kino kiddiridde enjuyi zombi okuli; FIFA ne FKF okutuula ne zikkaanya olwo ekibonerezo ekyali kibaweereddwa ne bakiddiriza.

FIFA yassa envubo ku kibiina ekiddukanya omupiira e Kenya mu February w’omwaka guno ng’embiranye eva ku Gavumenti ya Kenya okuyiwa akakiiko akaali kaddukanya omupiira mu biseera ebyo.

Minisita w’ebyemizannyo mu kaseera ako yali yasazaamu emizannyo gyonna mu Kenya oluvannyuma lw’okubulankanya ensimbi n’eyali pulezidenti wa KFK, Nick Mwendwa eyasibibwa.

Kenya yali yassibwako envubo era omwaka guno tebeenyigidde mu mpaka ez’omuzinzi wabula okujja kwa minisita w’emizannyo omuggya, Ababu Namwamba kutaasizza kinene nnyo okutuusa lwe baggyiddwaako envumbo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *