Fifa World Cup 2022; Senegal yesozze omutendera gwa ttiimu 16.

0

Senegal emu ku ttiimu 5 ezaakiikirira semazinga wa Africa mu mpaka z’omupiira ez’ekikopo ky’ensi yonna eyiseewo neyesogga omutendera gwa ttiimu 16.

Senegal The Teranga Lions okutuuka ku buwanguzi buno ekubye Ecuador goolo 2 – 1 eziteebeddwa Ismaila Sarr ne captain Kalidou Koulibaly.

Senegal eyiseewo ng’ekutte ekifo kyakubiri mu kibinja A n’obubonero 6 ate Budaaki eyiseewo nga ekulembedde ekibinja kino n’obubonero 7 oluvanyuma lw’okukuba abategesi aba Qatar goolo 2 – 0.

Mu kibinja kino abategesi aba Qatar ne Ecuador bawanduse, nga Qatar tefunyeyo yadde akabonero ate Ecuador ewandukidde ku bubonero 4.

France, Brazil ne Portugal zezaasoose okuyitawo okugenda ku mutendera oguddako ogwetabwamu ttiimu 16, ate ttiimu endala 16 nazo ziwanduse nga n’abategesi aba Qatar mwobatwalidde.

Ttiimu za Africa endala ezikiise mu mpaka za.world cup 2022 mulimu Ghana, Senegal,Morocco, Cameroon ne Tunisia.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *