Abasituzi b’obuzito beesunga kufuna kubonero bubatwala mu Olympics.

0

Mu mpaka z’okusitula obuzito ez’ensi yonna ez’okubeera mu kibuga Bogota ekya Colombia, Uganda yaakukiikirirwa abazannyi basatu nga ku bano kuliko; Lydia Nakidde ow’obuzito bwa kkiro 64, Davis Niyoyita (kkiro 61) ate nga kapiteeni wa ttiimu, Ibrahim Nsubuga waakuvuganyiza mu buzito bwa kkiro 73.

Okulaba nga ttiimu ekola bulungi mu mpaka zino ezitandika nga December 5, ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu ggwanga ekya Uganda Weightlifting Federation, kyasunsudde abasituzi b’obuzito omulundi ogusemba ng’okusunsulamu kuno kwabadde ku jjiimu e Kasubi.

Nsubuga yasitudde kkiro 215 mu, Nakidde n’asitu kkiro 130 mu ate nga Davis Niyoyita owa kkiro 64 yaasitudde kkiro 220.

Ttiimu yaakutambulira mu bibinja bibiri ng’ekibinja ekisooka kyakusitula nga December 2 nga kino kirimu; Davis Niyoyita ne pulezidenti w’ekibiina Salim Musoke olwo ebirala basimbule nga December 6 nga kino kyakutambulira wamu n’omutendesi Kasim Nsubuga.

Nsubuga agamba nti okutendekebwa okusembyeyo kwawadde abazannyi essuubi nti bakukola bulungi mu mpaka z’ensi yonna nga kati kye basigalidde kwongera kwetereeza.

Omutendesi Kasim Nsubuga agamba nti ttiimu abazannyi be bonna bali mu mbeera nnungi okussaawo okuvuganya okw’omulembe.

“Njagala okwebaza abakulira omuzannyo guno olw’obuwagizi bwe batuwadde okulaba nga tukiika mu mpaka zino era nga ndi mukakafu nti tulina obusobozi obufuna obubonero obututwala mu Olympics,” Nsubuga bwe yategeezezza.

Empaka zino zaakuggwa nga December 16 ng’abazannyi balwana kukung’aanya bubonero obubatwala mu Olympics mu 2024 e Paris mu Bufalansa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *