Exif_JPEG_420

Kalenda y’empaka z’obugaali bw’e Busoga

  • 29/11/22 – Kigulu – Bunha
  • 30/11/22 – Butembe – Luuka
  • 1/12/22 – Bulamogi – Bugabula
  • 2/12/22 – Bukono – Bukooli
  • 6/12/22 – Bugweri – Busiki

NG’omwaka gunaatera okuggwaako, abakungu b’Obwakyabazinga bwa Busoga basazeewo okuzzaawo empaka z’obugaali bw’empaka mu bitundu by’e Busoga by’enjawulo.

Oluvannyuma lw’okutuuza olukiiko olwabadde ku ssomero lya Iganga Municipal Pulayimale, minisita w’emizannyo Amin Bbosa yakakasizza bwe baatuuse ku nkiriziganya y’okutandika n’empaka z’okusunsulamu mu buli ssaza.

“Twasazeewo tuzuukuse empaka zino n’ekigendererwa okuzuukusa ebitone by’obugaali e Busoga,” Bbosa bwe yagambye.

Yayongeddeko nti essaza lya Kigulu ne Bunha ge gagenda okusooka nga gaakuleeta abavuzi 50 omuli 25 gaali za maanyi ga kifuba, 25 bavuge eza ggiya. Ku bano baakufuna omukaaga buli mutendera abanaakiikirira mu buli ssaza mu z’akamalirizo ezinaavugibwa nga December 17.

Kkampuni ya MTN y’emu ku zivujjirira empaka zino nga fayinolo yaakubeerawo nga December 17.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *