CAF efulumizza ennaku empya empaka za Champions League bwe zinaazannyibwa.

0

Ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lwa Afrika ekya Confederation of African Football (CAF) kifulumizza ennaku empya empaka za Champions League bwe zinaazannyibwa.

Nga December 12, lwe lunaku olwalondeddwa okukwatirwako obululu bw’ebibinja oluvannyuma lw’okulemwa okukwatibwa nga November 16. Ttiimu 16 ze zirindiridde akalulu kano aka Champions League nga kw’otadde ne CAF Confederations Cup.

Bannantameggwa ba Uganda aba Vipers be bamu ku balindiridde akalulu kano oluvannyuma lw’okuwandulamu bannantameggwa ba DR Congo aba TP Mazembe abalina ekikopo kino emirundi etaano.

Ttiimu ezisuubirwa okuzannya CAF Champions League kuliko; Vipers SC (Uganda), Al Ahly ne Zamalek (Misiri), Raja Casablanca ne Wydad Casablanca (Morocco), Al Merreikh ne Al Hilal (Sudan), JS Kabylie ne CR Belouizdad (Algeria), Esperance Tunis (Tunisia), Mamelodi Sundowns (South Africa), Petro Luanda (Angola), Simba (Tanzania), Horoya AC (Guinea), Coton Sport (Cameroon) ne AS Vita (DR Congo).

Eziri mu Confederation Cup; ASEC Mimosas (Ivory Coast), Diables Noirs (Congo), TP Mazembe, St. Eloi Lupopo ne DC Motema Pembe (DR Congo), Pyramids FC ne Future FC (Misiri), Al Akhdar (Libya), AS Real Bamako (Mali), Marumo Gallants (South Africa), ASKO Kara (Togo), Yanga (Tanzania), USM Alger (Algeria), AS FAR (Morocco), Rivers United (Nigeria), Monastir (Tunisia)

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *