Abawagizi b’empaka z’amasaza beebuuzizza ddi fayinolo lwe zinaazannyibwa.

0

Abakungu ba kakiiko akaddukanya empaka z’ masaza basabye abawagizi b’empaka zino okubeera abagumiikiriza ku nsonga ya fayinolo yaazo.

Bano okukola okusaba kuno , kiddiridde abamu ku bawagizi b’empaka zino abaakulembeddwaamu Jeniffer Namugga,(omu ku bawagizi ba Buddu lukulwe), abeebuuzizza ddi fayinolo y’empaka z’omulundi guno lwe zinaazannyibwa.

“Tugenda kumpi mu myezi ebir i(2) ng’ Obwakabaka tebunnalangirira fayinolo y’a masaza era n’ebbugumu lyayo litandise okutugwaamu” ; bwatyo Namugga bwe yategeezezza ng’alaga obutali bumativu ku nsonag eno.

Yawagiddwa banne okwabadde; Alex Mulindwa (owa Busiro) ne Ambrose Ssemugooma (owa Mawokota) abalaze obweeraliikirivu nti fayinolo eno yandizannyibwa omwaka ogujja (2023) kubanga guno gunaatera okugwaako ate tennalangirirwa.

Mu kubaanukula,omwogezi w’akakiiko kano, Faridah Bongole abasabye okubeera abagumiikiriza okutuusa Ssaabasajja Muwenda Mutebi Owookubiri, lwanaasiima fayinolo eno ezannyibwe kubanga empaka zino zeetooloolera ku bwa Kabaka bwe. Era n’abagumya nti essaawa yonna bakugirangirira .

Bannantameggwa b’empaka zino, aba Buddu bakuttunka ne Busiro (eyasemba okutuuk aku fayinolo mu 2018 e Namboole) ku fayinolo y’omulundi guno , oluvannyuma lw’okuwandulamu Bulemeezi mu kakodyo ka ggoolo y’okubugenyi.

Buddu yayitiddewo ku mugatte gwa ggoolo 3-2,oluvannyuma lw’okuteebamu ggoolo y’oku bugenyi mu mupiira gw’okuddingana e Kasana.

Ogwasooka gwaggwa 1-0,ate ogw’okuddingana Bulemeezi neekuba 2-1,kyokka Buddu neeyitirawo ku ggoolo y’okubugenyi (away goals’ rule).

Yo Busiro yawandudde Ssingo ku mugatte gwa ggoolo 5-2,oluvannyuma lw’okuwangula ensiike zombi.

Ogwasooka gwaggwa 3-2 e Mityana,ate ogwokudingana ne guggwa 2-0 e Ssentema. Era ttiimu zombi zirinze lunakku lwokka Obwakabaka lwe bunalangirira fayinol eno zifaafagane.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *