Omutendesi wa Bright Stars, Mwebaze atenderezza abazannyi be.

0

Asaph Mwebaze

Omutendesi Asaph Mwebaze.

Omutendesi wa Bright Stars,Asaph Mwebaze atenderezza omutindo abazannyi be gwe baayolesezza nga bamegga Express ggoolo 2-0 e Wankulukuku.

Mwebaze eyabadde ku puleesa y’abawagizi ,oluvannyuma lw’okumegga Onduparaka 2-1 wiiki ewedde,agamba nti bakama be babadde bamwagaza buwanguzi bwokka okuzza ttiimu engulu.

Nelson Senkatuuka omuteebi wa Bright Stars ye yabadde omuzannyi w’olunaku bwe yateebye ggoolo zombie mu kitundu ekisooka ne ziyamba Bright Stars okulinnya ebifo 5 okuva mu ky’e 11 okusibira mu kyomusanvu ku bubonero 11.

Omupiira guno gwe gwasoose Express okukubwa awaka ng’oggyeeko ogwa Villa bwe bakyalize e Wankulukuku eyagikuba (2-0)

Abawagizi ba Express baasirise be cce nga n’abamu bayomba nti ku ffoomu ya Bright Stars ebadde mbi nga yaakawangula omupiira gumu mu 8,ebakuba etya .Express yasigadde mu kyakutaano ku bubonero 14 nga yenkana BULL ne Vipers kyoka nga zigisinza ggoolo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *