Ferdinand akubye ebituli mu mugagga wa ManU omupya.

0

Wadde nga tannamaliriza misoso gimufuula omu ku bagagga ba ManU, Sir Jim Ratcliffe batandise okumukubamu ebituli.

Eyaliko omuzibizi wa ManU, Rio Ferdinand y’agugumbudde Ratcliffe olw’okwagala okukansa abadde akulira omupiira mu Crystal Palace, Dougie Freedman gw’agamba nti kikonwa.

Kigambibwa nti Ratcliffe agenda okubeera mu mitambo gy’omupiira mu ManU, atandise okusonga ku bantu b’anaakola nabo era Freedman enzaalwa ya Scotland y’omu ku bo.

Wabula Ferdinand agamba nti omukulu oyo talina ky’ajja kugasa ManU kuba ne Crystal alemeddwa okubaako ky’agiyamba.

“Siraba by’akoledde Palace era sijjukirako sizoni yonna ecamudde bawagizi ba  ttiimu eyo era tebeenyumirizangako Freedman,” Ferdinand bwe yategeezezza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *