Abasituzi b’obuzito beesunga za nsi yonna.

0

Abasituzi b’obuzito bamusaayimuto beesunga za nsi yonna ezinaabeera e Mexico omwezi ogujja. Kiddiridde bano okuwangula emidaali gya zaabu mu mpaka za Afrika Youth and Junior Championships e Misiri gye buvuddeko.

Shabra Mutesi ne Dan Tumukunde abayizi ku Kakungulu Memorial SS be baakiikiridde Uganda mu mpaka zino ezaamaze ennaku ttaano e Misiri. Mutesi owa S6 yawangudde zaabu emu ne feeza bbiri ate Tumukunde n’awangula zaabu ssatu ne feeza ssatu.

“Nneesunga za nsi yonna era ng’enda kwongera amaanyi mu kutendekebwa nsobole okumegga owa Cameroon eyansinze kkiro ebbiri mu mpaka zino. Mmanyi nti nnina okutuula ebigezi bya S6 naye empaka we zinaatuukira nga biwedde,” Mutesi bwe yategeezezza.

Yasitudde omugatte gwa kkiro 144 ate Madeleine Jacquette Ndolo owa Cameroon n’asitula omugatte gwa kiro 146. Ate Tumukunde owa S5 mu ssomero lye limu yasitudde omugatte kkiro 220. Akulira Kakungulu Memorial, Haji Jamil Buwembo yategeezezza nti baakwongera okuwagira abayizi bano n’okutumbula omuzannyo mu bamusaayimuto mu masomero.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *