Pochettino azze kumenyawo notisi za Guardiola.

0

Omutendessi wa Chelsea , Mauricio Pochettino , azze amazeeko nga muwogo okusanyaawo notisi za mutendessi munne Pep Guardiola abadde abafudde akafene k’oku kkubo nga mu mipiira  5 gye babadde bakyesembyeyo okusisinkana , Man City gyonna egiwangudde ekitegeeza nti ebadde yeffuze ensiike eno.

Man Cirty , ejja mu nsiike eno nga mu mipiira 11 gye basambye mu sizoni eno nga , balina obubonero  27 nga bakubiddwa emipiira 2, bawangudde 9 nga bateebeddwamu ggoolo 8 ate bateebye ggoolo 28 , ekitegeeza nti balungi mu kulumba era omutendessi Pochettino kyalina okusalira magezi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *