ManU ne Arsenal ziri bweru mu Carabao Cup.

0

Bannantameggwa b’ekikopo EFL Cup (Carabao Cup) aba Manchester United bafunye ekirooto eky’entiisa, Newcastle gye baakuba okukiwangula sizoni ewedde bw’ebakutte n’ebafutiza mu kisaawe kyabwe okukkakkana ng’ebawandudde. Newcastle yawangudde ggoolo 3-0. 

Newcastle okukuba ManU kyaddiridde omupiira gwa Man City, nayo mwe yakubira ManU ku ggoolo ze zimu era awaka ku Old Trafford nga mu mipiira 15 gye baakasamba sizoni eno, ManU ekubiddwaako emipiira munaana (8), nga ye kampeyini gy’ekyasinze okutandika obubi okuva mu sizoni ya 1962/63. Oluvannyuma lw’okuwandulamu Man City ne United, kati Newcastle yaakuzzaako Chelsea ku luzannya lwa ‘quarter’. 

West Ham nayo terabizza Arsenal ku njuba bw’ekubye batabani ba Mikel Arteta ggoolo 3-1. Omuzibizi wa Arsenal, Ben White ye yagguddewo olugendo lwa Arsenal, bwe yeetomedde omutwe ogwayise ku Ramsdale ng’ensobi eva ku kkoona eryasaziddwa omuteebi Jarrod Bowen mu ddakiika eya 16. Aba Arsenal baabadde bakyatetenkanya okufuna ey’ekyenkanyi ate Mohammed Kudus  n’abongera eyookubiri mu ddakiika eya 50 ne gujabagira!

Wano Arteta we yalowoolezza ku ky’okuleetamu emmunyeenye ze nga Declan Rice kyokka tekyayambye era Bowen yabongedde ggoolo endala ne gufuuka 3-0. Newankubadde kapiteeni Odegaard yateebyeyo ggoolo emu ne gufuuka 3-1 tekyalobedde West Ham kuyitawo olwo Arsenal n’esigala ku kyeya ky’ekikopo kino kye yakoma okuwangula emyaka 30 egiyise.

Liverpool yakubye Bournemouth ng’eyita mu ggoolo za Cody Gakpo n’eya Darwin Nunez n’ewangula ku ggoolo 2-1,  ku mutendera oguddako ya kukyaza West Ham eyaggyeemu Arsenal. Ate Chelsea ng’eyita mu Benoit Badiashile ne Raheem Sterling okuwangula Blackburn ku ggoolo 2-0.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *