Ab’emmotoka z’empaka beeriisa nfuufu e Mbarara.

0

Abavuzi b’emmotoka z’empaka 31 beeyiye ku kisaawe kya Mwesigwa Resort mu kibuga Mbarara okulwanira obubonero obubateeka mu bifo ebisava mu mpaka za bakyakayiga ezimanyiddwa nga ‘Autocross Championship’

Okwawukanako n’empaka za Autocross ezizze zivugibwa ku kalenda y’omwaka guno, olwa leero bakafulu bangi abazeetabyemu okunyumisa omukolo oluvannyuma lw’emyaka egiwerako nga tezitwalibwa Mbarara.

Jonas Kansiime Matayo mu Mitsubishi Lancer Evo 9, Duncan Mubiru Kikankane (Ford Fiesta Proto), Ronald Ssebuguzi (Ford Fiesta Proto), Ibrahim Lubega Pasuwa (Toyota Corolla FX), Umar Dauda (Mitsubishi Evo 6), Mohammed Bwete (Mitsubishi Evo 9), Fred Busuulwa Kitaka (Subaru Impreza), Peter Kalule (Subaru XV) n’abalala be bamu ku bakafulu abeetabyemu.

Ssinga Kansiime akulembedde ku ngule eno (Autocross Championship) n’omugatte gwa bubonero 54 awangula empaka zino ez’omulundi ogw’okutaano sizoni eno, ajja kufuuka kyampiyoni w’engule eno omwaka guno.

Esigadde empaka za mulundi gumu ku kalenda y’omwaka, siinga Kansiime asumagira, Kevin Bebeto ali mu kyokubiri n’obubonero 39 naye engule eno agitunuulidde, ayagala kuwangula mpaka za leero lwo omuwanguzi asalirwewo mu ziggalawo omwezi ogujja.

Mu ngeri y’emu empaka za leero zeetabuddwaamu abavuzi b’empaka za ‘Enduro’ eziddukira mu biwonvu, ensozi, ebinnya, amayinja, enjazi n’ebirala nga bano bavuganya ku laawundi yakuna.

Akuliddemu okutegeka amakubo David Nsobya yakubirizza abawagizi obuteeyiwa mu makubo kuna mmotoka zigenda kubeera zidduka nnyo ate n’akuutira abavuzi okugoberera amateeka agabalambikiddwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *