FUFA erangiridde omutendesi wa Cranes omuggya, Paul Put Joseph enzaalwa ya Belgium. Wa myaka 67 nga yasikidde Micho Sredejovic enzaalwa ya Serbia eyakwatiddwa ku nkoona oluvannyuma lwa Cranes okulemwa okukola obulungi mu z’okusunsulamu abanaasamba AFCON omwaka ogujja.

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo abadde n’akulira emirimu, Watson Edgar nga banjula omutendesi ono eri bannamawulire enkya ya leero ku kutebe kya FUFA e Mengo n’ategeeza nti y’asinzizza ebisaanyizo kw’abo 250 abaasabye omulimu guno ogwalangibwa mu omwezi oguwedde.

Wabula akikkaatirizza nti ku baasaba 250 kwaliko Bannayuganda babiri bokka wabula ebisaanyizo ne batatuuka ku bye baali baagala. Put obutendesi yabutandika mu 2001 ng’atendese kkiraabu mu Bulaaya, mu Afrika ssaako ttiimu z’amawanga.

“Amanyi bulungi ebikwata ku mupiira gwa Afrika era ng’atendese ku ttiimu z’amawanga eziwera wamu ne kiraabu. Abadde agoberera omupiira gwa Uganda era aliko abasambi b’asuubira okuyita. Tumuwadde endagaano ya myaka ebiri wabula ng’esobola okuzzibwa obuggya,” Magogo bw’ategeezezza ng’amwanjula.

Agambye nti bamukkirizza okuleeta abayambi be ab’ekikugu bataano wabula nga baakujjanga nga ttiimu erina emipiira egy’okusamba. Baakumulonderako n’abatendesi ba wano okukolagana n’akakiiko ak’ekikugu okulonda abasambi wabula nga bano nabo FUFA egenda kusooka kumuwa abo abalina ebisaanyizo yeerondereko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *