Mauricio Pochettino , atendeka Chelsea akyali mugumu nti batabani be bakyalina obusobozi obulwanira ekikopo sizoni eno ewedde nga tennabatambulira bulungi.

 Ku Ssande , Chelsea yakoze amaliri (0-0) ne Bournemouth nga kati balina wiini 1 mu mipiira 5 .

Balina obubonero 5 nga bali mu kya 14.

Nkyali mugumu nti abazanyi bagenda kutereera.

Ku gwa Bournemouth abamu ku bassita bange baabadde bakoowu nga baakava ku ttiimu z’amawanga gabwe wabula tulina ebitone ebisobola okuvuganya ku kikopo , Pochettion bwe yagambye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *