Munnayuganda omusituzi w’obuzito , Roy Mubiru yeesomye okunywesa Abazungu amazzi mu mpaka z’ensi yonna eza Mr.Strong ne Arnola Classic ez’omwaka guno.

Mubiru eyaakasitukira mu mpaka za Massachusetts State  Power Lifting Championship mwe yasitulidde  1,835 mu buzito bwa Heavy nga yamezze banne 100.

Agamba nti waakuddamu okumegga Abazungu ne ku mulundi guno.

Waakusooka kuvuganya mu za Mr. Strong Man nga October 28 olwo afundikire n’eza Arnold Classics Power Lifting Championship mu November.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *