Enfa ya kooci Timbe erese ebibuuzo bingi.

0

Sam Timbe 69, ku Lwokutaano yakella ku kisaawe e Gayaza ku mirimu gye egy’okutendeka URA FC nga bulijjo. Okutendekebwa bwe kwawedde, yafalaasidde abazannyi be ‘obutalya bumpwakimpwaki’ wabula balowooze nnyo ku mupiira gwa KCCA FC gwe baabadde bagenda okuzannya ku Ssande ogwa semi za ‘FUFA Super 8’ e Lugogo.

Ku Lwomukaaga, abazannyi n’abamyuka be baakedde ku kisaawe e Gayaza kyokka baakanze kulinda Timbe nga talabika. Robert Mukasa, omu ku bamyuka be owa baggoolokipa, agamba nti baalabye talabika ne bamukubira essimu bategeere embeera eriwo.

Yabagambye nti teyasuze bulungi n’asalawo agendeko mu ddwaaliro lya St. Catherine ku Buganda Road bamukebereko. Ng’atuuseeyo, baamukebedde ng’alina puleesa kyokka nga terinnye nnyo ne bamusaba abatwalire empeke ze yabadde amira basinziireko okumuwa endala.

Yazzeeyo eka awummulemu oluvannyuma akomewo kyokka nti olwatuuseeyo n’ayongera okwewulira obubi. Yakubidde mutabani we, Joseph Timbe essimu n’aba URA era mu bwangu nnyo nga mutabani we amutuuseeko.

Yabadde yaakamussa mu mmotoka, ne ambyulensi ya URA n’egguka n’atwalibwa mu St. Catherine Hospital. Eno bwe bazzeemu okumukebera, baazudde ng’ali bubi nnyo ne babongerayo mu Nakasero Hospital, gye yafiiridde. Oluvannyuma FUFA omupiira yagukyusizza n’etegeeza nti yaakulangirira olunaku olulala. Yasembye okuduumira URA ng’ewangula Bright Stars (2-1) e Lugazi ku ‘quarter’ ya FUFA Super 8.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *