Kampala Queens esisinkanye ttiimu ya Djibouti.

0

Leero ku Mmande, Kampala Queens FC yandissaawo ekyafaayo ky’omutegesi w’empaka za CECAFA asoose okulemwa okuva mu kibinja ky’ez’okusunsulamu abanaakiika mu Champions League w’abakazi.

Bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi mu ggwanga (FUFA Women Super League), battunka mu za kusunsulamu ttiimu emu eneekiikirira Zone 5 (CECAFA) mu Champions League w’abakazi wakati wa November 5-19 mu Ivory Coast.

Bali ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru nga leero Kampala Queens ezannya FAD FC eya Djibouti mu mupiira gwabwe ogusemba mu kibinja A omulina okuva ttiimu bbiri ezikulembera okwesogga semi.

Ekibinja A kikulembeddwa Central Bank of Ethiopia (CBE) n’obubonero 7, Kampala Queens abategesi balina 4, Buja Queens eya Burundi erina busatu, Yei Joint Stars (3) ne FAD ekoobedde nga terinaayo kabonero.

Kampala Queens emalayo leero emipiira gyayo tekyasobola kuva mu kibinja kino kuba Buja Queens eri mu kifo ekyokusatu ebuzaayo emipiira ebiri ate gyombi ezannya ttiimu ezisinga obunafu okuli; Yei Joint Stars ne FAD z’esobola okukuba olukunkumuli lwa ggoolo n’eggyawo abategesi mu kyokubiri.

Eno sizoni yaakusatu ng’ekikopo kya Champions League w’abakazi mu Afrika kizannyibwa. Wano mu CECAFA, ez’okusunsulamu ezaasooka Kenya ye yazitegeka mu 2021 era Vihinga Queens n’ekiika, sizoni ewedde 2022, Tanzania yategeka era ttiimu yaayo eya Simba Queens n’ekiika, omwaka guno Kampala Queens y’ebadde erina okuwanika bendera ya Uganda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *