Ttiimu y’eggwanga ey’abakazi eya volleyball  yeesozze ‘quarter’ z’empaka z’ekikopo kya Afrika (2023 CAVB African Women’s Volleyball Championship) omulundi ogusookedde ddala bukya etandika kuzeetabamu mu 2007.

Empaka zino ziyindira mu kibuga Yaounde ekya Cameroon, zaatandise wiiki ewedde nga zaakukomekkerezebwa ku Lwakuna lwa wiiki eno. Ttiimu essatu ezikulembera, zaakukiikira Afrika mu z’ensi yonna (2025 FIVB Volleyball Women’s World Championship).

Uganda yavudde mu kibinja B mwe yavuganyirizza ne Kanya, Rwanda, Lesotho, Burkina Faso ne Morocco. Okwesogga ‘quarter’ baamezze Lesotho 3-0 (25-10, 25-5 ne 25-10), Morocco baagikubye 3-2 (25-15, 26-28, 17-25, 25-16 ne 15-11) wamu ne Burkina Faso gye baawangudde 3-0 (25-14, 25-12 ne 25-18).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *