Omutendesi wa Vipers , Leonard Martins Neiva akkiriza nti Jwaneng Galaxy FC yagwanidde okuwangula wabula n’agirabula nti ngaa bwe yafunye ggoolo 2 , nbo basobola okuziteebera e Kitende .

Vipers yakibiddwa 2-0 ng’okuyitawo yeetaaga 3-0 ku Lwomukaaga e Kitende wabula balina okulinnyisa ggiya kuba bukya ttiimu eno etandika kuzannya mpaka za Afrika , tekubangako ggoolo 3 ng’eri waka.

Omwaka oguwedde , yakubye Olympic Real de Bangui eya Central Afrikan Republic 3-0 ku bugenyi  nga bwe yatuuka mu kisaawe kyayo e Kitende yawangulirawo 1-0 .

Omutendesi wa Jwaneng Galaxy , Morena Ramoreboli yagambye nti wiini gye yafunye temala kyokka yamuwadde entandikwa ennungi kuba bagenda kwongera okwetereezza balumbe Vipers nga bamannyi kye beetaaga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *