Ng’akatale k’abasambi kanaatera okuggalwawo , waliwo abasambi abalemedde  ku mudaala ng’a kiraabu zibasenza luti ng’ekikere  banoonye ekibanja awalala ng’akapiira ke basamba tekammuka bulungi n’ensonga endala.

Waliwo abasambi abatali mu pulaani z’abatendesi nga Nicholas Pepe ku  Arsenal ate abalala nga Harry Maguire bayinza obutasobola kutuula ku katebe olw’okwagala ennamba mu mpaka za Euro 2024.

Harry Maguire yandigenda mu West Ham ate musaayimuto wa Arsenal , Folarin Balogun yandigenda mu Reims ey’e Bufalansa ku bbanja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *