Eyaliiko omutendesi wa Man U ,Sir Alex Ferguson yeewuunyisizza abawagizi  ba ttiimu eno  bw’awaanye omuzanyi wa ttiimu bwebatalima kambugu.

Ku Lwomukaaga , Fergie yetenderezza omutindo ne ffoomu omuwuwuttanyi wa Liverpool , Dominic Szoboszlai bye yayolesezza nga bakuba Bournemouth 3-1.

Yabadde mukkakkamu , ng’alina sipiidi , atandika ennumba ate ng’akuba ennyanda ku ggoolo.

Abazannyi  bwe batyo baalina kubeeranga mu Man U wabula baggya baffe baamutugulako batya? Fergie bwe yeebuuzizza.

Bin Fergie yabyogedde Man U yaakavuyiza mu gwa Spurs mwe baagikubidde 2-0 .

Amakkati gaffe geetaagamu omuzanyi nga ye atalina gwa’awa kitiibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *