South Afrika y’erina essuubi mu World Cup y’okubaka.

0

South Afrika ly’eggwanga mu Afrika eryasooka okutegeka World Cup y’omupiira mu 2010, Cricket World Cup (2003), Rugby World Cup (1995) ate era lye lisoose n’okutegeka World Cup y’okubaka 2023. Esigadde ennaku 11 World Cup y’okubaka etandike mu kisaawe kya International Convention Center mu kibuga Cape Town ekya South Afrika.Endiba  ekuleetedde ebikwata ku ttiimu ya South Afrika ey’okubaka.

Bamanyiddwa nga Spar Proteas abatendekebwa Norma Plummer enzaalwa za Australia. Yasooka kubatendeka mu 2015 n’asuulawo omulimu mu 2019 wabula omwaka oguwedde, baamukomezzaawo. Cecilia Malokwane y’akulira okubaka mu South Afrika, nga bakwata kyakutaano mu nsengeka z’okubaka mu nsi yonna. Ensiike 65 ze baakeetabamu ku ddaala ly’ensi yonna, bakung’aanyizza obubonero 6,770 nga bazitowa obuboneo 157.

South Afrika yamezze New Zealand

Amawanga gombi ge gaali gaasaba okutegeka World Cup eno naye ekibiina ekifuga omuzannyo guno mu nsi yonna (INF) ne kiwa South Afrika omukisa.

Bwe bazze bakola mu World Cup

Guno mulundi gwa 10 nga Spar Proteas ekiika mu World Cup. Bali mu kibinja C ne; Jamaica, Wales ne Sri Lanka nga bonna banoonya kikopo kya World Cup kisooka okuva 1963 lwe kyatandikawo. South Afrika eggulawo ne Wales nga July 28. Omulundi ogwasookera ddala okwetaba mu World Cup mu 1963 eyali e Bungereza, baamalira mu kyamukaaga nga bwe gwali mu 2007 mu New Zealand era zino ze sizoni ze bakyasinze okukola obubi.

World Cup ya 1995 mu Birmingham ekya Bungereza gye bakyasinze okukola obulungi bwe baakubwa Australia 68-48 ku fayinolo. Mu ya 1967 mu Australia, baakwata kyakusatu, 1999, 2003, 2011 ne 2015 baakwata kyakutaano ate mu 2019 e Liverpool, baamalidde mu kyakuna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *