Abazannyi ba golf beenyigidde mu kaweefube w’okutaasa obutonde bw’ensi bwe basimbye emiti 100 nga tebannazannya mpaka za NCBA Golf Series ezaabadde ez’okunaku lumu e Kittante ku Lwomukaaga.

Gyasimbiddwa abazannyi mu kampeyini ya NCBA Bank okuddiza ku bantu n’okutaasa obutonde nga bayita mu mizannyo okusinziira ku akulira emirimu, Mark Muyobo.

“Twagala kusimba emiti 400 ku kisaawe kya Kitante. NCBA Golf Series zaali zizannyibwa Kenya wokka wabula omwaka ogwaggwa ne twongerako Uganda ate guno twongeddeko Rwanda ne Tanzania nga tulondamu kiraabu ezeetabamu era omwaka guno aba Uganda Golf Club ne Entebbe Golf Club be beetabyemu,” Muyobo bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti omwaka oguwedde baasonderamu ensimbi obukadde 100 ze baakozesa okudduukirira essomero lya St. Noah e Ntebe. Empaka zaawanguddwa musaayimuto Peter Tumusiime asoma ebyabizinensi ku YMCA e Wandegeya bwe yakubye empiki 69 era ng’ono y’agenda okukiikirira kiraabu eno mu mpaka ez’akamalirizo mu December ku Singoma Golf Club e Kenya.

“Buno bwe buwanguzi bwange obw’amaanyi obusoose. Kimpadde obuvumu nti nsobola n’okuwangula eza National Open omwezi ogujja,” Tumusiime bwe yategeezezza.

Yaddiriddwa Joseph Cwinyai ku mpiki 72 ne Aggrey Mutaka ku 76. Mu bakazi, zaawanguddwa Judith Komugisha eyakubye empiki 78 n’addirirwa Wendy Angudeyo eyakubye 79. Anaawangula ku fayinolo e Kenya waakufuna ssente za Kenya 100,000 (mu za Uganda 2,500,000/-).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *