Ebiseera by’omu maaso eby’omuzannyi Harry Maguire tebinnamanyika mu ManU, omutendesi Erik ten Hag, bw’amuyise n’amwambula ekikomo ky’obwakapiteeni.

Omungereza ono asanze akaseera ku mulembe gwa Ten Hag era kigambibwa nti yandiva mu ManU ng’akatale k’okukyusa abazannyi kano tekannaggwaako. Okuva Ten Haga lwe yajja, emipiira egisinga obungi Maguire agitandikdde ku katebe oluusi n’obutazannyira ddala.

Maguire 29, eby’okumwambula ekikomo abyogeredde mu bubaka bwe yafulumizza ku mukutu gwe ogwa twitter n’ategeeza nti omutendesi amuyise n’amuwa ensonga ez’enjawulo kwe yasinzidde okumuggyako ekikomo ky’obwakapiteeni.

Kyokka Maguire ayise mu kiwandiiko kye kimu n’ategeeza nti tekimusanyusizza kyokka ne yeebaza abawagizi ba ManU abamuwagidde nga ye kapiteeni n’asiima n’eyali omutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer ayamulonda ku bwakapiteeni mu 2019 nga yaakava mu Leicester City.

Kati ekikomo kijulidde okuweebwa Bruno Fernandes, abaddenga akyambala nga Maguire ali ku katebe, kyokka waliwo n’abazannyi abalala nga Casemiro, Raphael Varane, Luke Shaw n’abalala Ten Hag b’ayinza okulowoozaako ku bwakapiteeni n’obumyuka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *