Owa Cranes yeevuma kisenge kya ttiimu ye.

0

Omutendesi wa Crested Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi, Ayub Khalifa yeekwasizza abazibizi be okumusubya obuwanguzi bwe baabadde bakola amaliri (3-3) ne She Amavubi eya Rwanda mu mupiira gw’okusunsulamu abagenda mu Olympics omwaka ogujja.

Eggulo, mu kisaawe kya Kigali Pele Stadium, Uganda yazannye ne Rwanda mu nsiike esooka ey’ez’okusunsulamu amawanga 12 agalyetaba mu mizannyo gya Olympics omwaka ogujja mu kibuga Paris ekya Bufalansa.

Okusinziira ku Khalifa, ekisenge kya Crested Cranes kyonna kyabadde kifu, Rwanda yabateebye ggoolo zonna ssatu lwa nsobi ezaakoleddwa ggoolokippa Ruth Aturo, abazibizi Shadia Nankya, Samalie Nakacwa, Aisha Nantongo ne Sumaya Komuntale.

Khalifa yagezezzaako okukola enkyukakyuka mu makkati bwe yaggyeeyo Margaret Kunihira ayita ku wingi, n’aleeta Shamira Naluggya okwatagana ne Joan Nabirye okuziyiza emipiira okutuuka ennyo mu kisenge wabula era emitono ennyo egyatuuse eri ggoolokippa Aturo, Rwanda mwe yaggye ggoolo.

Shakira Nyinagahirwa ye yasoose okuteebera Uganda, Hassifa Nassuuna ne Fazila Ikwaput ng’ava ku katebe wabula obwedda buli Uganda lw’eteeba nga ne Rwanda ebateeba ekyatabudde omutendesi.

Khalifa yakyusizza ttiimu okuva kw’eyo eyakubye Tanzania (3-1) e Lugogo. Yaleese Nabirye wakati ne Kunihira olwo n’atuuza Catherine Nagadya eyateeba ku Tanzania ne Shamirah Naluggya.

“Amazima Rwanda yabadde ttiimu nnafu ku Uganda naye ensobi zaayitiridde mu bazibizi, wabula ng’enda kuddamu kugatta notisi tulabe nga tufuna wiini ku Ssande mu gw’okudding’ana,” Khalifah bwe yagambye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *