Omutendesi wa She Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’okubaka Fred Mugerwa Tabale afunye akamwenyumwenyu, Barbados bw’ekakasizza nga bw’erindiridde Uganda mu nsiike ez’omukwano ssatu.

She Cranes esigazza ennaku 23 zokka okwetaba mu mpaka z’ensi yonna (World Netball Championship 2023) ez’okuzannyibwa wakati wa July 28 ne August 6 mu kisaawe kya International Convention Center mu kibuga Cape Town ekya South Afrika.

Eno ye World Cup ey’okubaka ey’omulundi ogwokuna Uganda gy’egenda okwetabamu oluvannyuma lwa (1979, 2015 ne 2019).

Mugerwa agamba nti She Cranes bukya eyingira nkambi emyezi ebiri emabega, ezannye ensiike ez’omukwano ne ttiimu y’abasajja ey’okubaka naye babadde beetaagayo ensi z’ebweru okumuwa ekifaananyi ekituufu ku ttiimu gy’alina.

“Barbados egenda kunnyamba okumpa ekibalo ekirungi, abazannyi bange bali ffiiti naye nkyalina kye nnoonya y’ensonga lwaki ensiike za Barbados nzeetaaga,” Mugerwa bwe yategeezezza.

She Cranes ebadde yaakusimbula nga July 21 okuva e Ntebe ezannye ne Barbados oluvannyuma lw’ennaku bbiri wabula kizuuliddwa nti ennyonyi ya Uganda Airlines gye balina okukozesa ekoma Johannesburg, ekitegeeza beetaaga ennyonyi endala ebatuusa e Cape Town.

“Olunaku ttiimu lw’esitula lukyusiddwa okuva July 21 kati yaakusimbula nkeera nga July 22, olw’ennyonyi ya Air Link ejja okubanona ku kisaawe e Johannesburg okubatuusa e Cape Town okukyusa mu nteekateeka zaayo,” Mugerwa bwe yagasseeko.

She Cranes tegenda kusobola kuzannya Barbados nga July 23, abazannyi bajja kuba bakoowu kati tugenda kuteesa nabo tuzannye nga July 24 oba 25.

Mu 2018, She Cranes bwe yali yeetegekera emizannyo gya Commonwealth egyali mu Gold Coast ekya Australia, yazannyamu ez’omukwano ssatu ne Barbados, n’ewangulako bbiri (48-40 ne 46-28) n’ekubwa (42-38).

Mu ngeri y’emu bwe baabadde beetegekera okugenda mu mizannyo gya Commonwealth mu kibuga Birmingham, Uganda yamezze Barbados (84-31) mu gw’omukwano.

Uganda eri mu kibinja D ne New Zealand, Trinidad and Tobago ne Singapore. Ate Barbados eri mu kibinja B omuli; Bungereza, Malawi, ne Scotland.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *