Vipers eyogereza muzibizi eyawangulira Express ekikopo.

0

Mu kaweefube w’okulaba nga Vipers, ekola bulungi mu mpaka za CAF Champions League n’okweddiza ekikopo kya liigi, eri mu kwogereza eyaliko ssita wa Express FC, Enock Walusimbi abeegattako oluvannyuma lw’okwabulira FC Peterhead ey’e Scotland. 

Sizoni ewedde, Peterhead yasaliddwaako mu kibinja kya League One ne beesogga League Two eya Scotland oluvannyuma lw’okumalira mu kifo ky’e 10. Ono yeegatte ku Peterhead mu September w’omwaka oguwedde ng’akakasizza abakungu ba ttiimu eno nti asobola kyokka teyabataasizza. 

Walusimbi yakomyewo mu ggwanga era gye buvuddeko, yabadde mu kafubo n’abakungu ba Vipers nga bamwogereza abeegatteko mu katale k’abazannyi kano. Bukya Walusimbi agenda Scotland, abadde taddangamu kuyitibwa ku Cranes wadde nga y’omu ku bazibizi Micho be yasookerangako we yabeerera mu Express. 

Walusimbi azannyiddeko ttiimu okuli; Shafranto FC (2011-2013), Nansana United (2013-2015), Bright Stars ne Express FC. Sizoni ya 2020/21, Walusimbi yayamba Express okusitukira mu liigi y’eggwanga n’ekikopo kya CECAFA. 

Mu ngeri y’emu, Vipers yaakakansa abazannyi okuli; David Bagoole okuva Jinja North, Richard Matovu owa Arua Hill n’Omubrazil  Giancarlo Rodriguez. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *