BUL FC babbingwa be Jinja batadde abazannyi basatu oluvannyuma lw’endagaano zaabwe okuggwaako omwezi guno ogw’omukaaga. 

Richard Wandyaka, Ivan Wani ne ggoolokippa Emmanuel Kalyowa be bateereddwa okwegatta ku ttiimu endala sizoni ejja. 

Wandyaka eyateeba ggoolo nnya (4) sizoni ewedde y’omu ku bazannyi ababadde bakyasinze okulwawo mu ttiimu gy’abadde yaakazannyira sizoni mukaaga ez’omuddiring’ana. 

Abazannyi bano be baayamba ttiimu eno okusitukira mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup mu sizoni ya 2021/22 nga bali wansi w’omutendesi Alex Isabirye.

BUL FC yamalira mu kifo kya musanvu sizoni ewedde ku bubonero 36 points. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *