Ssabasajja Kabaka asiimye okuggulawo empaka za masaza ga Buganda ez’omupiira ez’omwaka guno 2023.

0

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll, asiimye okulabikako eri Obuganda ku lw’omukaaga luno nga 24 June,okuggulawo empaka za masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2023.

Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 19 nga zizannyibwa, okuva lwezaddamu mu 2004.

Bannantameggwa b’empaka ezakasembayo eza 2022 aba Busiro bebagenda okuggulawo empaka zino nga battunka ne Mawokota mu kisaawe e Wankulukuku.

Katikkiro wa Buganda Charles y’akulembeddembemu omukolo gw’okutongoza empaka zino mu Bulange e Mengo.

Akunze Obuganda okujja mu bungi okubugiriza Ssemunywa, kyokka nasaba ttiimu zonna 18 okweteekateeka obulungi zoolese omutindo ogutabangawo.

Minister w’ebyemizannyo abavubuka n’okwewumuzamu mu Bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, agambye nti ku mulundi guno essira balitadde nnyo ku kubangula abakulembeze ba ttiimu za masaza okunyweza omutindo.

Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka z’amasaza Sulaiman Ssejjengo agambye nti ku mulundi guno emipiira gyonna gigenda kubeerangako bakalabaalaba, abatuumiddwa ba General Match Coordinators okulaba ng’emipiira gitaambula bulungi okwewala emivuyo egitera okulabikira ku bisaawe.

Ttiimu zonna 18 buli emu eweereddwa obukadde 10, emijoozi set 2, emipiira 5 n’ebirala.

Bannamukago okuli abavugirizi abakululu aba Airtel, Centenary bank bawaddeyo obukadde 200, Plascon obukadde 100, UNAIDS, BBS, Uganda Aid Commission bonna beyamye okwongera okuwagiranga empaka zino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *