Vipers eyagala kukansa Kyeyune ne Tadeo Lwanga okuvuganya mu za CAF.

0

MU kaweefube w’okulaba nga ttiimu ya Vipers ekola bulungi sizoni ejja mu mpaka za CAF Champions League, basonze ku bazannyi babiri oluvannyuma lw’okugoba abazannyi abasinga mu ttiimu. 

Tadeo Lwanga eyali ssita wa ttiimu eno ne Said Kyeyune owa URA be bali ku mimwa gy’abakungu ba ttiimu eno mu katale k’abazannyi okulaba nga benyweza sizoni ejja. 

Lwanga abadde takyalina ttiimu yonna mw’azannyira oluvannyuma lw’endagaano ye ne Arta Solar eye Djibouti okuggwaako gye yeegattako ng’ava mu Simba eye Tanzania.  

Vipers yatuuse dda ku nzikiriza n’omuzannyi ono okubeegattako sizoni ejja okulaba nga bagumya amakkati gaabwe oluvannyuma lw’okuta abazannyi okuli; Olivier Osomba, Serge Robert Mwenge, Ibrahim Orit, Gracia Mpongo Mbombo, Musa Ssali ne Frank Tumwesigye ababadde bazannyawo. 

Lwanga azannyiddeko Express FC ne SC Villa nga tanneegatta ku Vipers. 

Vipers yakata abazannyi munaana okuli; Bashir Asiku, Frank Tumwesigye, Olivier Osomba Serge Robert Mwenge, Dissan Galiwango, Ibrahim Orit, Gracia Mpongo Mbombo ne Musa Ssali. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *