Ssente empitirivu eziri mu mpaka z’amasaza  ze zireetera abakungu abamu omululu  nga  baagala okufuna ssente  ez’a mangu mu nsonga z’oktegeka n’okugaba ddiiru ezimu.

Ddiiru nyingi ezikolebwa na’amasaza gatandise ekireetera abakungu abamu okugamba nti sizoni etuuse  era ssaawa ya kukola ssente mu bawagizi  b’empaka zino.

Empaka z’amasaza z’omwaka guno ziggulwawo  nga 24 omwezi guno ku kisaawe ky’e Wankulukuku wakati wa Busiro  ne Mawokota.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *