KCCA FC ereese omutendesi Omuzungu, Sergio Daniel Moniz Traguil asikire Jackson Mayanja ‘Mia Mia’.Mayanja abadde wa kiseera okumala emyezi ebiri nga yasikira Morley Byekwaso,eyasuulawo ttiimu eno ng’ebula emipiira 6 liigi okuggwa.

Mayanja yayambye KCCA okumalira mu kyokubiri ekyabawadde ttikiti y’okukiika mu CAF Confederations Cup.Benkanyizza obubonero ne Kyampiyoni Vipers wabula KCCA ne bagisingako ggoolo mukaaga.

Moniz 43, nzaalwa y’e Portugal nga yaweereddwa endagaano ya myaka 2. Aludde mu mupiira gwa Afrika nga yatendekako Kaduna United (Nigeria),Hearts of Oak (Ghana), Singida United (Tanzania),Vilankulos (Mozambique),Kabuscorp ne Santa Rita (Angola),Township Rollers (Botswana).

Endala kuliko ,Sports Libosa e Benfica mu Portugal.Akulira emirimu mu KCCA FC, Anisha Muhoozi yagambye nti balina esuubi ddene mu Moniz olw’obumanyirivu mu mupiira gwa Afrika nga bamusuubira okuzannyi.Yagaseeko nti emirimu agitandika July 1,2023.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *