Abe Masaka beefuze eggaali z’empaka.

0

Bannamasaka baalaze nti mu ggaali z’empaka tebawena nga bayitira ku kiraabu yaabwe eya Masaka Cycling Club. Baawangudde empaka z’okukuza olunaku lw’ensi yonna olw’okuvuga eggaali olwassibwawo ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations mu 2018.

Baaluteekawo abantu bavuge obugaali nga balondoola n’okutegeeza okukuuma obutonde bw’ensi nga wano zaategekeddwa kiraabu ya Uganda Cycling Academy ng’ekolagana n’ekibiina kya Uganda Cycling Association, essomero lya Ecole School n’ekitebe kya Bufalansa mu Uganda.

Abavuzi 160 okuva mu kiraabu 12 be baasindanye mu kiromita 73 ezaabaddemu okwetooloola ku luguudo lwa Lugogo Bypass enfunda 16 mu basajja ne 10 mu bakazi nga baasoose kwetooloolera ku nguudo z’akasozi Kololo.

Ensiitaano yasinze wakati w’abavuzi okuva e Masaka ne Kyanja Cycling mu Nakawa.

Abdul Maswazi owa Masaka Cycling Club agambye nti obuwanguzi obusoose mu mpaka ennene bumuwadde amaanyi nga kati ayagala kikopo kya ggwanga omwaka guno.

Ye Florence Nagawa (owa Masaka) eyawangudde mu bakazi agambye nti empaka ze yeetabyemu omwezi oguwedde e South Africa zaamwongedde obukugu n’asiima bakama be okumuteekamu ensimbi.

“Neeyongedde obukugu e South Afrika. Kati njagala za nsi yonna e Scotland mu September,” Nagawa bwe yagambye.

Abaliko obulemu n’abato abali wansi w’emyaka 10 nabo beetabye mu mpaka zino.

Wabaddewo okusomesa nti okuvuga eggaali kiyamba okumalako abantu situleesi n’okwewala endwadde z’okutabuka obwongo, okwettanira obutamala gasaasaanya kasasiro wamu n’okusaanuusa ebintu bya pulasitiika mu kutaasa obutonde.

Kiraabu ezeetabyemu kuliko; Kampala Cycling, Masaka, Mbarara, Tropical Heat, Kyanja, Fans Cycling, Critical Mass, Mwatu Cycling, Para Cycling n’amasomero.

Augustine Niyonzima akulira Uganda Cycling Academy yategeezezza nti bagenda kuzongeramu ebirungo omwaka ogujja era ng’ensimbi ezisondeddwa zigenda kweyambisibwa okusimba emiti ku masomero ataano mu Kisoro ne Kabale; kibuyaga ge yabambula olw’obutaba na miti egikwata empewo.

Ate pulezidenti wa Uganda Cycling Association, Sam Muwonge Mahaba yategeezezza nti bano be bamu mu bavuzi abagenda okuvuganya mu mpaka z’ensi yonna e Scotland kuba batuusizza omutindo ogwetaagisa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *