Munnayuganda aggundira enguumi e Dubai awutudde Omufaransa.

0

Abdul Aziz Ssebulime Munnayuganda aggundira enguumi e Dubai asitukidde mu musipi gwa ‘WBA Asia Lightweight Title’.

Ssebulime eyakazibwaako erya ‘InnoLee De Hitman’ okusitukira mu musipi guno aggunze Omufaransa Guillaume Lorenzo nga kabuze kata amuttire mu miguwa.

Olulwana luno lwabumbujjidde mu ‘Agenda Dubai Arena’ mu ggwanga lya UAE mu kiro ekyakeesezza ku Ssande.

Ssebulime aluwangulidde ku bubonero 77-72, 78-71 ne 76-74.

Ababiri battunkidde lawundi 8 Ssebulime mw’asuulidde Lorenzo ebigwo bisatu olw’enguumi zaabadde amufukirira ezibadde ziyiika ng’amazzi.

Olulwana lwaabwe lwetabiddwako bakafulu mu kuggunda enggumi mu nsi yonna omwabadde Omungereza Amri Khan eyatendereza Ssebulime bwalina ekitone ekyenjawulo.

Ssebulime yakansibwa kampuni ya ‘Cuban Boxing’ eyaba Cuba, agamba kaawangudde omusipi guno obwanga kati abwolekezza kuvugannya ku nnwana ez’emisipi egy’amaanyi okuli ogwa WBC, WBA, IBF, ABA n’ogwa WBO.

Luno lubadde lulwana lwe lwa 10 mu bikonde ebya pulofeesono kw’awangudde 9 n’okukubwa lumu lwoka.

Mu bikonde bya bakyakayiga yazannyira Lukanga Boxing Club wakati wa 2014 ne 2019 kwe yagatta okuyitibwa ku ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ eyali yeetegekera empaka ezaasunsula abeetaba mu mizannyo gya Olympics egyaali e Japan mu 2021. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *