Abeemifumbi beepikira mpaka za ‘Mr. Central Region’.

0

Abapisi b’emifumbi abasoba mu 100 beetegekera mpaka za ggwanga eza ‘Mr. Central Region’ ez’omwaka guno.

Empaka zino ze ziggulawo kalenda y’ekibiina kya Uganda Body Building and Fitness Association (UBBFA) ekitwaala omuzannyo guno ggwanga.

Ez’omwaka guno zakuyindira ku MT Zion Hotel nga June 9

Abazannyi okuli Lamech Muwanga kyampiyoni w’empaka zino, Daniel Mwesigwa eyawangula eza Mr Kampala mu 2021, Axam Kisekka, Abdul Naser Mwanje, Hassan Ssentongo Zuraika Najjuma, Shamirah Mukyaala n’abalala beewera kuzisitukiramu.

Godfrey Lubega eyawangudde eza Mr. Uganda si waakuzetabaamu olw’amateeka okumukugira.

Kent Arereng omwogezi wa UBBFA ategeezezza nti bongedde ebirungo eby’amaanyi mu mpaka z’omulundi guno omuli ebirabo okuli sente eri abawanguzi n’agatako nti ku luno basuubira okuvuganya okw’amaanyi mu bazannyi okwawukanako ezisembye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *