Kiraabu ya Uganda ey’okubaka eya Prisons emezze ginnaayo eya  Makindye Weyonje mu mpaka z’okubaka eza kiraabu empanguzi mu buvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Club Championships eziyindira mu ggwanga lya Kenya.

Guno gubadde mupiira gwakubiri eri kiraabu zombi nga Prisons eyingidde  omupiira guno nga eragirawo nti e Kenya yakimye kikopo.

Ekitundu ekisooka kiwumudde Prisons ekikulembedde ku ggoolo 23 ku 11 nga entabwe evudde ku Makindye Weyonje kuba n’amakati amanafu agaalemereddwa okutuusa emipiira gyayo.

Mu kitundu ky’omuzannyo ekyokubiri Prisons ekomyewo nga enywezezza nnyo oludda oluteebi n’oluzibizi okukkakkana nga Prisons omupiira eguwangudde ku ggoolo 40 ku 32.

Omutendesi wa Prisons Imeldah Nyongesa ategeezezza nti oluvannyuma lw’okuwangula liigi ya wano, baagala kati kuwangula kikopo kya East Africa okuweza omuwendo gw’ebikopo bina nga baali baasemba ku kiwangula mu 2018.

Kati Prisons yaakawangula emipiira ebiri mu kibinja ky’erimu ekyokubiri kye bakulembedde n’obubonero buna  ate Makindye Weyonje yaakakubwa emipiira ebiri mu kibinja kye kimu.

Mu mpaka zino eza East Africa Netball Club Championships Uganda yakiikiriddwa ttiimu ttaano okuli;  NIC, Prisons ne Makindye Weyonje ez’abakazi so ez’abasajja kuliko; Kampala University ne WOB.

Empaka ezaatandise  ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde mu kibuga Nairobi ekya Kenya  zaakukomekerezebwa ku Lwomukaaga lwa wiiki eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *