Poliisi ekubye abakulembeze ba Mateete mu mupiira.

0

Mu mupiira ogw’omukwano wakati wa Poliisi FC n’abakulembeze ba Mateete Town Council mu  Disitulikiti y’e Ssembabule, poliisi ewuttuddwa ggoolo 1-0.

Omupiira guno gubadde ku kisaawe kya St. Peters Primary School e Mateete.

Guno gutegekeddwa ab’ebyokwerinda ku mulamwa ogw’okutumbula enkolagana wakati wa Poliisi n’omuntu wa bulijjo n’okumalawo obuzzi bw’emisango mu kitundu kino.

Wabaddewo okulambula ennyiriri z’abazannyi okukoleddwa Omubaka wa Pulezidenti e Sembabule Caleb Tukaikiriza,  Omumyuka we Seruwagi Faizo, Amyuka Sentebe wa Disitulikiti eno Jude Kiganda n’abalala.

Ttiimu y’abakulembeze b’e Mateete erengedde akatimba ka Poliisi mu kitundu ekisoose nga yo Poliisi tefunyeeyo yadde ggoolo n’emu mu mupiira guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *