LIIGI ya babinywera eyongedde okussa ttiimu essatu ezivuganya ku kikopo ky’omwaka guno ku puleesa oluvannyuma lwa Vipers okukubwa Bright Stars e Kavumba mupiira ogwabadde obugoombe. 

Vipers, eyabadde yeesunga okuwanula SC Villa ku ntikko, yakubiddwa Bright Stars (1-0) e Kavumba mu Wakiso nga gwe gwasoose okugiggyako wiini bukya ejja, mu ‘Super’ mu 2013. 

Vipers yabadde yaakamegga KCCA (1-0) kyokka Bright Stars yagisudde mu kawunyemu kuba eba kuwangula nsiike eno yabadde erinnya butereevu ku ntikko y’ekimeeza ku bubonero 48 kuba SC Villa erina 46. 

Villa yasigadde ku ntikko ku bubonero 46, Vipers ne KCCA (45) kyokka nga Villa ebasingako omupiira gumu gwokka. 

Ku Lwokutaano Vipers ekyalira Onduparaka FC mu Arua so nga KCCA yakuttunka ne Express ku Lwomukaaga. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *