Ssita wa Cranes ne New York Red Bulls Sserwadda alongooseddwa obuvune.

0

Ssita wa ttiimu y’eggwanga Cranes ne New York Red Bulls Steven Sserwadda asuubirwa okudda mu nsiike emyezi etaano oluvannyuma lw’okufuna obuvune bw’eviivi n’alongoosebwa. 

Sserwadda yafuna obuvune buno mu nkambi ya Uganda nga beetegekera okuttunka ne Tanzania mu luzannya olwasooka e Misiri ku kisaawe kya Suez Canal Stadium nga 24th March mu kibuga kya Ismailia. 

Ono nga yaliko ssita wa KCCA yava katebe ng’asikira Fahad Bayo mu kitundu eky’okubiri wabula yazannya eddakiika mwenda zokka n’afuluma ekisaawe ng’afunye obuvune n’asikirwa Allan Okello. 

Sserwadda yeegatta ku ttiimu enkulu eya New York Red Bulls sizoni ewedde oluvannyuma lw’okukakasa saako n’okussa omukono ku ndagaano okuzannyira mu liigi ya babinywera eya Major League Soccer nga July 9th omwaka oguwedde. 

Ono akola bukubirire okulaba ng’afuna ennamba etandika ku ttiimu eno wabula nga yaakatandika emipiira ebiri gyokka okwali ogwa Atlanta United ne FC Cincinnati. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *