Kabaka yasiimye naggulawo empaka z’ebika e Wankulukuku.

0

OLUKIIKO  lw’a Buganda olw’ebyemizannyo batudde mu lukiiko oluteekateeka emipiira gy’ebika ne bakubiriza abakulembeze okukunga abantu okwetaba mu byemizannyo eby’ebika byabwe kibayambe okuzimba obumu ,okwongera okukuuma obulamu bwabwe awamu n’okulaakulanya ebyemizannyo mu Buganda.

Bino bibabuuliriddwa Hajji Sulaiman Magala ssentebe w’olukiiko oluteekateeka emipiira gy’ebika e Mengo era nga lw’etabiddwamu ab’obukiiko bwe ssaako n’abakulu okuva mu bika eby’enjawulo.

Hajji Magala ategeezezza nti Ssabasajja Kabaka wa Buganda yasiimye empaka  za 2023 okuziggulawo ku lw’omukaaga lwa wiiki eno ku kisaawe e Wankulukulu era ngabagenda kutandika nabekika kye nkima bantunke n’abengabi  Ensamba.

Sarah Nkonge Muwonge akuulira emipiira gy’okubaka akubiriza abakulu b’ebika okuwandiisa tiimu zaabwe ez’okubaka mu mpaka zino kibayambe okweteekateeka obulungi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *