Brig. Flavia Byekwaso akyalidde She Cranes n’abazzaamu amaanyi.

0

Brigadier wakati n'abazannyi ba She Cranes

Oluvannyuma lwa Brig. Flavia Byekwaso okukwasiba enkasi y’obwa pulezidenti bw’omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga, emirimu agitandise na kukyalira nkambi ya She Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’okubaka) eri mu kwetegekera empaka z’ekikopo kya World Cup.

Brig. Byekwaso y’abadde omumyuka wa Babirye asooka okuva June 5, 2021, abakiise b’omuzannyo guno lwe baalonda akakiiko k’abantu 12 nga b’adda mu bigere by’obukulembeze obukadde obwali wansi wa Suzan Anek Ongom eyali pulezidenti.

Ku ntandikwa ya wiiki eno, Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataha Museveni, yatuuzizza olukiiko mu maka g’obwa pulezidenti e Nakasero olw’etabiddwaamu;

Minisita omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang, Hamson Obua (minisita akulira ababaka ba Gavumenti), Kiryowa Kiwanuka (Ssaabawolereza wa Gavumenti), Patricia Achan Okiria (omumyuka wa kaliisoliiso wa Gavumenti), John Muwanga (Ssaababalirizi), Anthony Mugume (kamiisona w’ebyenjigiriza), abantu 12 ab’akakiiko ka UNF, akakiiko ka NCS, abazannyi ba ‘The Rock’ (5) n’aba She Cranes (5).

Mu lukiiko luno olw’omulundi ogw’okubiri nga UNF, NCS n’abakungu abakwatibwako basisinkana Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni kyasaliddwaawo, Babirye awummule emirimu gy’omuzannyo gw’okubaka okumala emyezi esatu nga bwe bamunoonyerezaako.

Ezimu ku nsonga Babirye ze baasinziddeko okumuzza ebbali y’embalirira ya ssente ezisukka mu bukadde 200 eyamulema okuwaayo, ebigambibwa nti Dan Ntale ateeberezebwa okubeera muganzi wa Babirye ate akulira ebyakitunzi bya UNF okulumirizibwa abamu ku bazannyi ba She Cranes nti abakaka abakaboozi, Babirye okusuza obubi ttiimu ya She Cranes ng’egenze mu mpaka ez’enjawulo  n’ensonga endala nnyingi.

Nkimanyi abazannyi abasinga babadde tebafuna bulungi ssente za nsako, akasiimo wamu n’ezentambula wabula bino tugenda kubigonjoola mangu ddala nga ssente zituuse ku akaawunti y’ekibiina.

Mbasaba tubeere kitole, awatali kwekutulamu, ssinga wabeerawo ensonga etatambula bulungi, tutuukirire abakulembeze ate twewale okweryamu enkwe, okuwaayiriza bannaffe, n’okwekuba obukokola.

Ebigambibwa nti waliwo abakulembeze abagezaako okukabasanya abazannyi, ekyo ng’enda kukikwasa maanyi nga munnamagye, ng’enda kuteekawo akakiiko akeetongodde okunoonyereza ku nsonga eno era ssinga waliwo alina obujjulizi obukwatikako tujja kukwetaaga okutuyambako okunoonyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *