Basiimye omutindo ogwayoleseddwa bamusaayimuto.

0

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation kitendereza omutindo ogwayoleseddwa abaddusi bamusaayimuto abaavuganyizza mu misinde gya Africa egya Under 20 Africa Athletics Championships egyabadde mu Lusaka ekya Zambia.

Mu misinde gino Uganda yavuddeyo n’emidaali ebiri nga wano omwogezi w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga, Abdullah Muhammed we yasinzidde n’ategeeza nga kino bwe kiraga nti ebiseera by’omu maaso eby’omuzannyo gw’emisinde mu Uganda bwe biri ebitangaavu.

“Nga Uganda tusanyukira obuwanguzi abaddusi baffe bamusaayimuto bwe baatuuseeko. Nga ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga , tukkiririza mu kuzimbira omuzannyo gw’emisinde  ku bamusaayimuto anti emiti emito gye giggumiza ekibira,” Muhammed bwe yatangaazizza.

Mu mpaka zino Uganda evuddeyo n’emidaali ebiri ogwa zaabu n’ekikomo nga ogwa zaabu gwawanguddwa Dan Kibet mu mbiro za mmita 5000 ate nga ogw’ekikomo gwawanguddwa Victor Cheroitich mu mbiro za mmita 3000 ez’okubuuka obusenge nga bw’ogwa mu mazzi.


Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *