Mutabani w’omugenzi  Ssennyange atandise na buwanguzi.

0

Zebra Ssenyange Jr, mutabani w’omugenzi Zebra Ssenyange atandise na buwanguzi bw’akubye munnansi wa Greece ekikonde ki tonziriranga mu mpaka z’ensi yonna.

Empaka zino ezimanyiddwa nga World Boxing Championship ziyindira mu kibuga Tashkent ekya Uzbekistan.

Ssenyange Jr. afukiridde Ritzakis eng’uumi n’amuleka ng’aboloogera mu miguwa bwaatyo ddifiri Gustin Edvardo enzaalwa ya Croatia nasazaamu olulwana luno mu lawundi ey’okubiri.

Battunkidde ku luzannya lwa 64 mu buzito bwa Light heavy kkiro 71. Kitegeeza Ssenyange Jr. kati yesoozze oluzannya lwa 32 mw’agenda okuttunkira ne munnansi wa Georgia Eskerkhan Madiev.

Empaka zino zaggyiddwaako akawuuwo nga April 30 nga zikomekerebwa May nga 14 omwaka guno.

Ssenyange yazze mu mpaka zino nga ffamire ye wamu n’abeng’anda ze kw’ossa emikwano, be bamusondedde ensimbi.

Akomawo mu miguwa ku Lwomukaaga luno nga May nga 6 2023 nga Mediev bwe battunka yakuba Shadir Musa Bwogi mu mizannyo gya Olympics egyali e Japan mu 2021.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *