Jjajja w’ebikonde mu Uganda ‘Don King’ Samuel Lukanga akakasizza abawagizi nti akyalimu ssupu bw’ayingidde emiguwa n’attunka ne ssentebbe wa Kampala Boxing Club (KBC) Muhamed Mbidde.

Lukanga 65, yayingidde emiguwa omulundi gwe ogwasoose mu myaka 40 bukya awumula ebikonde mu 1983.

Babadde ku mukolo kw’akulizza ebikujjuko eby’emyaka 30 gy’amaze ng’avujjirira ebikonde. Omukolo gubadde ku MTN Arena e Lugogo.

Ababiri battunkidde mu buzito bwa Light Heavy lawundi 3 nga lwagenze okuggwa nga balemaganye.

Omukolo gwe gumu gwetabiddwaako Minisita w’emizannyo Peter Ogwang nga gwabadde gwakusonderako nsimbi ezinaayambako Lukanga mu kuzimba ettendekero ly’ebikonde ery’okuwemmenta obuwumbi 18.

Ensimbi ezisoba mu bukadde 100 ze zaasondeddwa

Ogwang yawaddeyo obukadde 10 ku lwa Minisita w’ebyenjigirizza n’emizannyo Janet Museveni kwe yagasse obukadde 10 obulala ku lwa National Council of Sports (NCS) akakiiko akatwala emizannyo mu ggwanga n’asubiiza okufalaasira Gavumenti okukwasizaako Lukanga.

Moses Muhangi, pulezidenti wa Uganda Boxing Federation (UBF) ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga yawaddeyo obukadde 5 kwossa abantu abalala.

Awamu ennwana 20 ze zizaannyiddwa okubadde wakati w’abatendesi n’abazannyi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *