Baddereeva eza Pearl baziwanda lulusu.

0

Amakubo gagoyezza mmotoka 16 ne ziwanduka ku lunaku olusoose olw’akaasammeeme mu mpaka za Pearl eziribira mu disitulikiti y’e Jinja ne Buikwe.

Kuno kuliko 4 ezibadde zivuganya ku ngule ya Afrika nga zikulembeddwa Yasin Nasser, Jas Mangat, Mike Mukula Junior ne Innocent Bwamikki. Munnakenya Rio Smith y’akyasigadde ku ngule ya Afrika wadde ng’avuganyiza ku mutendera gwa ARC3.

Abalala ku ngule y’eggwanga NRC bakulembeddwa Ronald Ssebuguzi, Joshua Muwanguzi, Umar Dauda, Peter Kalule, Fred Busuulwa Kitaka, Edward Kirumira, Samuel Watendwa, Mustafa Mukasa, Rashid Makumbi, Ratib Nasser, Isaac Ssozi, Godfrey Kiyimba bonna bali ttale.

Mmotoka 28 ze zaatandise olunaku wabula 12 ze zimazeeko olugendo olwa kkiromita 132.39 ze baavuze mu bitundu by’e buikwe.

Yasin Nasser yasubiddwa siteegi emu yokka era waakubonerezebwa ne penati ya ddakiika 10 mu budde bw’akozesezza. Mmotoka yabadde ekutuse siteeringi, leero akomyewo naye nga avuga ‘Super rally’ etaweebwa bubonero bwe bumu n’emmotoka evuze siteegi zonna.

Jas Mangat, emmotoka yakutuse oluseke olutambuza amafuta n’asubwa okuvuga siteegi bbiri, ono waakuweebwa penati ya ddakiika 20 mu budde bw’akozesezzaza, mmotoka yagikanise era leero waakuvuga ‘Super Rally’.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *