KCCA ne UCU Doves zitandise na buwanguzi.

0

Mu fayinolo za Volleyball

UCU 3-2 Sport-s (Abasajja)

KCCA 3-1 Sport-s (Abakazi)

TTIIMU y’abakazi ba KCCA ey’omuzannyo gwa Volleyball n’eyabasajja ba Uganda Christian University Mukono (UCU Doves) zitandikidde mu ggiya fayinolo za liigi y’oku ntikko bwe ziwangudde ensiike esooka kw’ezo essatu ze balina okwezannya.

Mu kiro ekikeesezza leero, mu kisaawe ekibikke ekya Old Kampala Arena, KCCA yavudde mabega okumegga Sport-s Women Volleyball Club ku ‘SET’ (3-1).

Sport-s Women Volleyball Club yakubye ejjinja mu njuki za KCCA bwe yasoose okuwangula ‘SET’ eyagguddewo (25-20), wabula KCCA yabatabukidde ne yeefuga ‘SET’ essatu ezasembyeyo (25-18, 25-21 ne 25-23).

Embiranyi yalabikidde nnyo mu fayinolo y’abasajja, UCU Doves ne Sport-s men Volleyball Club nga buli omu azannya ‘tontwala, nkutwala’ bwe beegabanyizza ‘SET’ ttaano okutuusa UCU bwe yawangulidde ku ‘SET’ esembayo.

UCU Doves yawangudde ‘SET’ esooka (25-23), eyookuna (26-24) n’esembayo (16-14) wabula Sport-s men Volleyball Club yabasumagizzaamu ‘SET’ ezaawakati ebbiri ez’omuddiring’anwa (25-18, 25-18).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *