Prisons ewangudde liigi n’ewera okusitukira mu kya East Africa.

0

Oluvannyuma lw’okuwangula liigi y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya Uganda Netball Super League sizoni eno, kiraabu ya Prisons etandise kaweefube okulaba nga  ewangula n’ekikopo ky’obuvanjuba bwa Africa ekya East Africa Netball club championship .

Okulaba nga bafuuka ba Nnaalongo sizoni eno, Prisons etandise okutendekebwa okwa kaasammeeme mu kisaawe ky’amakomera e Luzira wansi w’omutendesi Imeldah Nyongesa.

Prisons erina essuubi ly’okuddamu okuwangula ebikopo bibiri okuli ekya liigi ne East Africa nga bwe gwali mu 2017 ne 2018.

Omutendesi Imeldah Nyongesa ategeezezza nti oluvannyuma lwa ttiimu ye okuwangula liigi bazzeemu amaanyi nga kati baagala kufuuka ba kyampiyoni ba East Africa mu kubaka.

“Abazannyi bange kati balina vayibu era nga bawera kugenda Kenya kuliisa banene kakanja. Okusinziira ku bumalirivu bwe balina, mmanyi nga ekikopo ekyo nakyo tugenda kukiwangula,” Nyongesa bwe yategeezezza.

Empaka z’okubaka ez’obuvanjuba bwa Africa eza East Africa netball club championships zaakubeera mu ggwaga lya Kenya okuva nga 13-17 omwezi guno ogwa May.

Prisons abasemba okuwangula ekikopo kino mu 2018 bagenda mu mpaka zino nga banoonya kikopo kyabwe kyakuna nga bye bawangudde kuliko ekya ; 2016, 2017 ne  2018

Mu mpaka za East Africa ezikyasembyeyo ezaali wano mu Kampala ku kisaawe kya TLC e Kamwokya, Prisons yamalira mu kifo kyakusatu nga empaka zaawangulwa NIC ate KCCA kyakubiri.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *