KCCA ekoze amaliri ne Onduparaka.

0

Omutendesi wa KCCA FC ow’ekiseera, Jackson Mayanja yasudde obubonero bwe obusooka bukya yeegatta ku ttiimu eno wiiki ewedde ng’asikira Morley Byekwaso bwe yakoze amaliri ne Onduparaka FC erwanyisa ekyambe. 

Mayanja ne batabani be bazze mu nsiike eno nga bakawangula emipiira ebiri egy’omudirigana okwali ogwa SC Villa ne Gaddafi FC. 

Eggulo ku lwokubiri basudde obubonero ku Onduparaka FC eyabavudde emabega okugatta omupiira bwe yagukulembedde ggoolo 2-0 wabula gye byagweredde nga guwedde 2-2 ekyalese abawagizi ba KCCA ng’amaaso gabamyuse. 

Mayanja yategezezza nti ensobi zino zavudde ku nkyukakyuka zeyakoze mu kitundu eky’okubiri abazannyi be yawadde omukisa obutakuuma buwanguzi buno. 

Ggoolo za KCCA zaatebeddwa Moses Waiswa ne Allan Okello so nga eza Onduparaka zaatebeddwa Emmanuel Oketch. 

“Ndowooza enkyukakyuka ze nnakoze tezatuyambye kimala kuba abazannyi bange abasinga babadde bakoowu olw’emipiira gyetuzannyira okumukumu y’ensonga lwaki twakoze amaliri ne Onduparaka.” Mayanja bwe yategezezza. 

Ku lwokutaano, KCCA ekyalira Vipers e Kitende mupiira oguliko obugoombe n’okusalawo ani anasitukira mu kikopo kya sizoni. KCCA ekwata ky’akubiri n’obubonero 45.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *