Ttiimu y’abavubi ekubye ab’oku lukalu e Mpigi.

0

Bannabyamizannyo abaginyumirwa mu kisaawe ky’e Nabyewanga e Nkozi mu  Mpigi baziddwamu essuubi ery’abazannyi ery’obutaddamu kukinuubukiramu maviivi na nkola.

Mu kiseera kino ekisaawe kino kyafuuka dda kya kiwalaata ng’omuddo gwakiggwamu ng’omuzannyi akigwamu avaawo na binuubule.

Kaweefube w’okubakolera ekisaawe akiggyemu ekiwalaata awomeddwamu omutwe ssentebe wa NRM ku mwalo gw’e Kamaliba mu Lwera Sulaiman Kaweesi.

Kaweesi abyanjulidde ku mpaka z’akamalirizo ez’ekikopo kye ekya Kaweesi Easter Cup ezikomekwrezeddwa ku kisaawe kino eky’e Nabyewanga nga zijjumbiddwa abantu Bangi.

Ttiimu y’abavubi b’oku mwalo gw’e Ggolo y’esitukidde mu buwanguzi bw’ekikopo kino bw’ekubye bannyinimu aba Nabyewanga FC ggoolo 2-1.

Omwogezi wamaggye Felix Kulaigye y’akiikiridde minisita w’ebyokwerinda n’ensonga z’abazirwanako Vincent Bamulangaki Ssempijja.awaddeyo akakadde k’ensimu kamu zirongoose ekisaawe.

Kulaigye abasuubizza obukadde bubiri ate  amyuka Ssentebe wa NRM mu Buganda Kiwanda Ssuubi awaddeyo emitwalo 50 n’agaba eddagala n’ebbomba.

Ssentebe Kaweesi awadde omuwanguzi ekikopo n’amugattirako ente n’emitwalo 50 gattako emijoozi n’omupiira.

Owookubiri nga ye  Nabyewanga nabo abawadde ente n’emitwalo 20 gattako emijoozi n’omupiira.

Abakyala ba Ninzi abaawangudde okubaka nabo kikopo abagatiddeko ente n’emitwalo 50 nemijoozi n’omupiira.

Kaweesi buli ttiimu eyetaba mu mpaka zino buli emu agiwadde omujoozi n’omupiira n’abakubiriza okujjumbira ebyemizannyo nga bakulembezza empisa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *