Bunnamwaya Queens FC esitukidde mu mpaka z’abakyala eza pasikka.

0

Aba Bunamwaya Queens FC ne Gangu Fc battunse mu mpaka nga baluubirirwa buli omu okuwangula ekikopo ne Kimeeme w’embuzi mu mpaka ezaategekeddwa Akram Lutaaya omwana wa Ssaabagabo ezaatuumibwa Akram Lutaaya Women Football Easter cup.

Empaka zino ez’omupiira gw’e bigere ogwa abakazi zatandika ku Lw’omukaaga ku kisaawe ky’okunnya Lufuka  Zana Makindye Ssabagabo Munisipalite nga zetabwamu ttiimu munana nga zayawuddwamu  ebibinja biri nga mu Kibinja A mwabademu  Aidan College Fc,Lunnya Fc,Maama Benita ,Rez Life Church FC.

Ate mu kibinja B ne mubeeramu; Maximus FC, Bunnamwaya Queens FC,  Aggressive Memorial FC ne Ggangu FC.

Olwomukaaga we lwazibidde nga Aidan College ne Rez Life Church  FC be beesoze eziddirira ez’akamalirizo mu kibinja A, ate Bunnamwaya ne Ggangu nga mu kibinja B nabo bayitamu okwesogga ez’akamalirizo.

Eggulo ku Easter byagenze okukomekerezza nga Ggangu ne Bunnamwaya bali butoola ku fayinolo Bunnamwaya gye yeetisse ne ggoolo 1 -0 ne basitukira mu kimeeme w’embuzi n’ekikopo.

Omutegesi Akramu Lutaaya yagambye nti ekyamutegesezza empaka zino yakizudde nti abakyala mu Ssabagabo balekeddwa nnyo emabega mu kutumbula ebitone byabwe n’agamba nti ekigendererwa kyabwe si kyantalo wabula kutumbula bitone byabakyala ate nga tagenda kukoma ku kutumbula bitone byokka wabula n’ebirala.

Ye sipiika wa Bunnamwaya divizoni Muhammad Lumala yeebazizza omwana wa Ssabagabo Makindye n’asaba n’abakulembeze abalala okumulabirako kubanga mu kutumbula ebitone nga bino abantu mwe bayitira ne bafuuka ab’omugaso eri obulamu bwabwe n’eggwanga lyonna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *